Leviticus 19:35-37

35“Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. 36 aMubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.

37“Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.”

Copyright information for LugEEEE